0:00
3:02
Now playing: Gulu (Remix)

Gulu (Remix) Lyrics by Fresh Kid


A Fresh Kid Uganda (Gulu)
Eddie Dee (Gulu) yo
Gulu kati y’emboozi e Gulu (Gulu)
MC Events (Gulu)
Ssebo muyita na waffe e Luweero
Ppaka Gulu mbu okulaba omukulu, haha
Kirabika zino ensonga nkulu
14K tuteeke eddoboozi waggulu

Weebale kugituulamu Feffe FBM
Ssirinze part two ndeese ebyabuzeemu
Story nagigoberedde naye ate nabuzeemu
Kirabika olina byotaayagadde osseemu
Abaaleeta chips tebaaleeta za Lunabe?
Kuba ulcers e Gulu zaafuuka olunnabe
Ye ne Abdu Mulaasi eyasaba Ambulance
Kiraga nti Gulu bagyasimula bwasi
Bemutaatwala Gulu nti nabo era kyabaluma
Ne bakolima nti nammwe doctor ajja kubaluma
Kyazuuse nti era okwawukana ku UMA
Kwagala kuvuubiika anti mu UMA baliisa wuuma

Gulu y’emboozi enkulu (Gulu)
Tesosola muto oba mukulu (Gulu)
Gulu y’emboozi enkulu (Gulu)
Mbu bagenze kulaba ku mukulu (Gulu)
Gulu y’emboozi enkulu (Gulu)
Tesosola muto oba mukulu (Gulu)
Gulu y’emboozi enkulu (Gulu)
Abantu nga bagenze kulaba ku mukulu (Gulu)

Teri awanika kuteesa ekyo omukono nzisaawo
Kyokka nga General afuba nnyo okubabeezaawo
Bwe bambuuza abaatutunda mwenna nze mbawaayo
Teri afuna kasente n’ajja mwenna n’abawaayo
Ekyayambaza Kabakko, empale empanvu
Yayita wa mutunzi n’assaako ensawo empanvu
Asaana kusaasira kuba waaliyo ba Mayinja
Nga bali waka baliraanye Masannyalaze
Ssebo wava mu meeting, mbu osooke oseke!
Kwegamba ate n’oddayo, Feffe ate tuleke
Bwaba nga General yali ku ka sigala ke
Nga Chamili takalina awo nange mundeke nseke

Gulu y’emboozi enkulu (Gulu)
Tesosola muto oba mukulu (Gulu)
Gulu y’emboozi enkulu (Gulu)
Mbu bagenze kulaba ku mukulu (Gulu)
Gulu y’emboozi enkulu (Gulu)
Tesosola muto oba mukulu (Gulu)
Gulu y’emboozi enkulu (Gulu)
Abantu nga bagenze kulaba ku mukulu (Gulu)
Hahaha

Mubuuze gavumenti oba banaata ragga ddi?
Abaasaba E-Concert bo ku stage bajja ddi?
Kirabika bbo basooka kujjuza pocket
Performance payment even a week can’t last
Byafuuka bya ani akumanyi?
Ne bweba ensi ekumanyi
Saasira upcoming atalina ago maanyi
Disappointment mu kufuna appointment
Okuyita e Karuma olina obeera ku list
Nga commander w’abato, The New Generation
General, career yaffe eri ku probation
Teri atufaako, teri atuwa attention
Tukusaba bambi tusse mu calculations

Gulu y’emboozi enkulu (Gulu)
Tesosola muto oba mukulu (Gulu)
Gulu y’emboozi enkulu (Gulu)
Mbu bagenze kulaba ku mukulu (Gulu)
Gulu y’emboozi enkulu (Gulu)
Tesosola muto oba mukulu (Gulu)
Gulu y’emboozi enkulu (Gulu)
Abantu nga bagenze kulaba ku mukulu (Gulu)
Hahaha

Hahaha
www.nange ssiri mumativu
Yo Habs
A Fresh
We sign out
Akton