0:00
3:02
Now playing: Diana

Diana Lyrics by Philly Bongole Lutaaya


Gwe wange
Era gwe gwenalonda
Nwebwekiribaki no no sirikuleka
Kanjatule mu maaso ga bangi
Gwe wange
Era nze wuwo
Oba bwavu
Oba no bwebugagga
Nabeeranga naawe
Kuba gwe gwenalonda
Okufa kwekulitwawula
Gwe wange
Era nze wuwo
Tuyambagane nga
Diana wulira olwaleero
Leka nkukuume, nga nawe Diana bwonkuuma
Nakulonda mu bangi, Diana Babirye omulongo wowo
Leka nkutwale wano ewange
Omutima gumbeere muteego
Mwatu mwenya nze ndabe akazigo
Tambula ndabe ebitumbwe
Simanyi no maama
Wootoli Diana ndibeera wa
Simanya obiwulira, Diana njazika ku matu go
Akazigo mu mannyo
Bwoseka bwoti mpulira nfirawo
Leka nkutwale wano ewange
Nkakasa oja kweyagala
Tuyambagane nga
Diana wulira olwaleero
Leka nkukuume, nga nawe Diana bwonkuuma
Nakulonda mu bangi, Diana Babirye omulongo wowo
Leka nkutwale wano ewange
Omutima gumbeere muteego
Mwatu mwenya nze ndabe akazigo
Tambula ndabe ebitumbwe
Simanyi no maama
Wootoli Diana ndibeera wa
Simanya obiwulira, Diana njazika ku matu go
Akazigo mu mannyo
Bwoseka bwoti mpulira nfirawo
Leka nkutwale wano ewange
Nkakasa oja kweyagala
Nkwerondedeyo
Mu balungi olutoto
Naze nobweyamo sirikuleka
Ye aliba ani?
Alikundesa Diana
Newaddeyo maama
Nagondanga, nakugonderanga Diana Babirye omulongo
Iye maama ye
Omutima
Iye maama ye
Omutima ngutwale
Kyenkusaba nze ompe ng′obweyamo
Tonvanga kulusegere
Nebwengendawa njagala okudda nga woli mukwano gwange
Oh Diana
Iye maama ye
Omutima (gumpe ngutwale)
Iye maama ye
Omutima ngutwale
Nga nsobeza kiriza bwenenenyanga
Eby'omukwano webityo
Munno ngasobeza bwatyo neyenenya musonyiwe nga ko
Iye maama ye
Omutima (oh Diana)
Iye maama ye
Omutima ngutwale
Ebyomumaka tubikuume bibe nga byakyama
Bikwata kuffe feka
Bizibu nga bize abakulu webali
Banatulabulanga
Wesige nze
Iye maama ye
Omutima
Iye maama ye
Omutima ngutwale
Gwe munange ebyengambo tobyesiga
Emikwano misengejje
Abasinga balinda kulaba gwe woligwa
Olwo amannyo ku ngulu
Iye maama ye
Omutima
Iye maama ye
Omutima ngutwale
Iye maama ye
Omutima
Iye maama ye
Omutima ngutwale
Kaggwa yalayira
Ekiri mu ggulu
Bwekiribwatuka ensi erikakana
Omwana omuto aliyita nnyina
Omukulu omukulu nayita engozi
Emu emu zaali bbiri okuzaala akaliga
Ani yakazaala?
Kitondeke ekitooke kale ku luba
Kaggwa yalayira
Ekiri mu ggulu
Bwekiribwatuka ensi erikakana
Omwana omuto aliyita nnyina
Omukulu omukulu nayita engozi
Emu emu zaali bbiri okuzaala akaliga
Ani yakazaala?
Kitondeke ekitooke kale ku luba
Kaggwa yalayira
Ekiri mu ggulu
Bwekiribwatuka
Ensi erikakana
Omwana omuto
Aliyita nnyina omukulu nayita engozi
Emu emu zaali bbiri okuzaala akaliga
Ani yakazaala?
Kitondeke ekitooke kale ku luba
Kaggwa yalayira
Ekiri mu ggulu
Bwekiribwatuka ensi erikakana
Omwana omuto aliyita nnyina
Omukulu omukulu nayita engozi
Emu emu zaali bbiri okuzaala akaliga
Ani yakazaala?
Kitondeke ekitooke kale ku luba