0:00
3:02
Now playing: Feeling Zange

Feeling Zange Lyrics by Spice Diana ft. Kid Dee


Spice Diana
Diana
Baur
Spice Diana
Ndya ku ntuuyo zange eeh
Mu Sound Cover
Zino ntuuyo zaffe ne Baur
Sabula

Eno emboozi ya leero
Tonnyiigira bwe nkugambako
Bw’oba tonyumiddwa luyimba
Nkusaba wuliriza obubaka obutwale
Bannaffe bannaffe bantu bannaffe bayigga ffe
Baagala tulyenga byenda
Bo bagende n’ebibumba
Banyumirwa basanyuka nnyo
Nga tetulina buyimba
Ky’ekyo ekinkeeza buli ku makya
Ng’omulimi n’enkumbi
Maama wange eka anywe ku tuta
Aleme kusabiriza ssabbuuni
Ne mu byafaayo Cain ye yatta Abel
Amazima ddala bwe baava eri
Ekitonde muntu we ntiira dunia ah

Nze ndeka nkole bwe nfuna tonnyiigira
Ndya ku ntuuyo zange
Yadde abannemesa bali eyo beewera
Zino ntuuyo zange
Nze ndeka nkole bwe nfuna tonnyiigiranga
Ndya ku ntuuyo zange
Yadde abannemesa bali eyo beewera
Zino ntuuyo zange

Ebirungi by’omukoledde tabiraba atunula bbali
Ogula essaati asaba n’empale
Byonna tabiraba atunuza ndali, oh wa!
Nali naloopanga wa maama
Kati oba ndiloopa w’ani nze?
Kyokka nga bannanga bwereere
Ne be nnayamba nayambira bwereere
Baagala tulyenga byenda
Bo bagende n’ebibumba
Banyumirwa basanyuka nnyo
Nga tetulina buyimba
Boogera boogera
Ba people batuvuganya
Tetulina kye twakola
Naye ate batuzoganya, ah yeah!

Nze ndeka nkole bwe nfuna tonnyiigira
Ndya ku ntuuyo zange
Yadde abannemesa bali eyo beewera
Zino ntuuyo zange
Nze ndeka nkole bwe nfuna tonnyiigiranga
Ndya ku ntuuyo zange
Yadde abannemesa bali eyo beewera
Zino ntuuyo zange

Ne bwe twali mu masomero twasoma
Naye kati teri ajjukira na ku bye twasoma
Twacanga football ne netball
Naye kati teri ajjukira na bya netball
Bwebatyo nno bwe babeera
Teri ajjukira bya nkeera
Beerabira buli lukeera
Ah ye ye ye!
Baagala tulyenga byenda
Bo bagende n’ebibumba
Banyumirwa basanyuka nnyo
Nga tetulina buyimba
Boogera boogera
Ba people batuvuganya
Tetulina kye twakola
Naye ate batuzoganya, ah yeah!

Nze ndeka nkole bwe nfuna tonnyiigira
Ndya ku ntuuyo zange
Yadde abannemesa bali eyo beewera
Zino ntuuyo zange
Nze ndeka nkole bwe nfuna tonnyiigiranga
Ndya ku ntuuyo zange
Yadde abannemesa bali eyo beewera
Zino ntuuyo zange

Aah ah, ntuuyo zange
Aah ah, ntuuyo zange eh
Opafambo
Manager Roger
Mazima ntuuyo zaffe
Ah ntuuyo zange eeh eh eh