0:00
3:02
Now playing: Mind Your Business

Mind Your Business Lyrics by Spice Diana


Mind your business
Totutama, Totutama
Totutawanya
Mind your business
Muka neighbour tamusaana
Ani yagamba nti omulondere
Mind your business

Mind your business

Kati njogerera abakutya kubanga nze sikutya
Njogerera abakukoowa kuba nange nakukoowa
Twebuuza, omumwa gwotasirisa
Munaffe walwala ki?
Ehh, kati tuyige
Funa olupapula ne pen tusome
Teli mugezi mu byona
Lwaki wefudde omugezi mu buli kimu
Ogeya onno ogeya oli
Wefudde kalaba-laba
Ememe katale
Totuwa nyo magezi gakozese otusinge
Ogeya, olingiriza
Ovuluga banno byebakola
Kasasiro wuuyo mu maaso go
Tomulaba olaba byange
Abantu bantumye nkugambe
Nti osusiza mwa mwa mwa, ooh!
Ne business za banno zoyogerera kikomye, kyabulabe

Mind your business
Totutama, Totutama, Totutawanya
Mind your business
Muka neighbour tamusaana
Ani yagamba nti omulondere
Mind your business
Totutama, Totutama, Totutawanya
Mind your business
Oh jjawo akajanja
Vva ku love y'abantu

Muno munsi
Amakubo ga njawulo
Ffena getukozesa okuba obulungi
Era, era, Nebyetwakolerera mwatu bya njawulo
Buli omu ne choice ye
Oyo akusanyusa aba ambowa
Naye aba wuwo, n'owange wange
Waliwo akolerera emotoka
Nga kyekimusanyusa, eh
Nze mazima nkozesa kitone kyange
Nkole ebinene bisigale mu record
Nkuŋŋanye n'emikwano gyange
Bwembeera nfunye tugabane amasavu
Kimanye oluusi gwoyogerako, ha
Yasena kuluzi lw'omukisa

Mind your business
Totutama, Totutama, Totutawanya
Mind your business
Muka neighbour tamusaana
Ani yagamba nti omulondere
Mind your business
Totutama, Totutama, Totutawanya
Mind your business
Oh jjawo akajanja, ohh
Vva ku love y'abantu

Ooh, ooh, ooh
Ooh, ooh, ooh

Atalina ssente gw'omulaba
Anagwa amangu gw'omulaba
Atalina nyash ki akuluma
It will end in tears, gw'abilaba
Alina obulwadde gw'omulaba
Atafumbirwe naye omumanyi
Jjuuzi wasula enjala
Lwaki ekyo tewakilaba
Mmmh, kagundi ako tekanyirira
Gwe lwaki buba obuzibu bwo
Omuwala oyo byayimba sibyagala, come one
Genda onyumirwe adungu zo
Owoza gundi yagwamu
Kyoka tewamuyisa atte
Edit your mind
Control your mouth, eh
Control your language
Tujja kukuba empi, wewe wewe wewe