0:00
3:02
Now playing: Emmala

Emmala Lyrics by Spice Diana ft. OS Suuna


OS
Ono OS Ssuuna
Alongside Spice Diana
Eh, Baur on the beat
White House Music
Koona endongo
Hmmm

Both
Laavu yo gy’ompa babe emmala
Ooh, laavu yo gy’ompa babe emmala
Nze saagala mulala
Laavu yo gy’ompa babe emmala
Nange saagala mulala
Laavu yo gy’ompa babe emmala

Sabula

Both
Pakalast, sirina nze kye ntomaatoma, gyal
Laavu yo teyinza kuntama
Oh no no no no
Oli kitabo kye nsomasoma
Ekinnyumira kw’ono omwana
Ampoomera akirako ensaali
Jangu eno mwattu babe
Nkuwugireko mu musaayi
Twekwatako my lady
Nkwagala kufa walaayi
Olinga eyankolako juju
Mbeerayo nze ne nkulinda mu nju
N’ebigambo bye mpulira about you
Sibifaako nkwagala nnyo bubu
Oh nakupenda babe wangu

Both
Wasomera wa aah?
Wasomera wa ebyo by’okola?
Wabiyigira wa aah?
Ebisoko by’omukwano by’okola
Obukodyokodyo obukodyokodyo
Bw’okola on’onzitamu omuntu!
Bakwogerako, nti oli mukodo bukodo
Onondoza n’abantu, babe
Beera kumpi we nkulabira, ah
I don’t wanna miss you babe
Munnange bwe mba nga nkububira ah
Gaba mapenzi ssi kusumbuwa
Obusimusimu bwe nkubirako
Mbeera nkucheckingako oba oli okay
Oh nakupenda babe wangu

OS
Laavu yo laavu yo laavu yo
Laavu ewooma laavu esiiwa
Laavu etobya laavu etuuyanya
Laavu ekyunya mpa nze kye njoya
Mpa laavu enkyunya mpa nze kye njoya
Kye njoya yeggwe, yeggwe ggwe njoya
Kye njoya yeggwe, yeggwe ekyengera
Kye njoya yeggwe, njoya mutima gwo
Kye njoya, kye njoya, njoya care yo