0:00
3:02
Now playing: Tattoo

Tattoo Lyrics by Victor Ruz ft. Caspian Marvin


Hmmm yeah
Caspian Marvin
Na Jinja Boy
Eh yeah eeh
Again

Nali mmanyi bino tebirikoma
Twesuubiza bingi olw’okuba twali basanyufu
Nali mmanyi bino tebiribula
Nga twetala gaali matiribona
Neebakira ku ssimu ka video ko ng’oli mucamufu
Ekikangabwa kino nze siriwona
Nfubuttuse misinde nzuuno nkusange
Waalikubye essimu n’oŋŋamba nze nneme kulinda
Mbeera ku ddinisa Monday ppaka Sunday eeeh (aaah)
Kirituukawo ppaka era twesange
Ekinnuma kiri kimu nti baby nakufiirwa
Bagenda kuwasa era bakulange eeh

Mpulira erinnya lyo mu matu (mu matu, mu matu)
Misuwa gyo mifu (mifu, mifu)
Nze nzibye amatu (matu, matu)
Tosangula tattoo eyo
Mpulira erinnya lyo mu matu (mu matu, mu matu)
Misuwa gyo mifu (mifu, mifu)
Nze nzibye amatu (matu, matu)
Tosangula tattoo eyo

Retro Records

Nali mmanyi guno tegulikona
Bu juice bwa Dalawusi ngezezzaako naye tebugenda
Era nze siriwona
Eddoboozi lyo nsula ndiwuliriza
Mu matumbi budde emboozi z’ekiro
Nazo tezigenda wannimba tolibulanga, yeah eh
Nze baby sikyakola mba ku butambi eeh
Nanafuwa nnyo bwentyo omutima ngugumya naye njiwa musaayi eeh
Nasiraanira eno amakubo sikyalaba ndaba bisaanyi eeh
Ngabattukanira eno n’emmere tegenda yadde emigaati eeh
Byonna bikole naye tosangula tattoo
Y’erimu summary ya buli kimu
Yadde life yatwawula by two
Eky’okunkyawa, tekikubeerera kyangu (amajera)
Oh ntaawa (amajera)
Ndi eno nfa (amajera)
Ntaawaaa, oh babe (amajera)
Oh ntaawa (amajera)
Ndi eno nfaaa aah yeah yeah yeah (amajera)

Mpulira erinnya lyo mu matu (mu matu, mu matu)
Misuwa gyo mifu (mifu, mifu)
Nze nzibye amatu (matu, matu)
Tosangula tattoo eyo
Mpulira erinnya lyo mu matu (mu matu, mu matu)
Misuwa gyo mifu (mifu, mifu)
Nze nzibye amatu (matu, matu)
Tosangula tattoo eyo

Tosangula tattoo
Caspian Marvin
Yeah eeh