0:00
3:02
Now playing: Mulinze

Mulinze Lyrics by Damalie Dama


(Dama)
Bwenamusisinka eyo mukutayira
Ye yandaga endowoza ye
Yadde nasirikka , muli namatira
Nawulira ebigambo bye
Yali walusonyisonyi
Nga tantunulira
Ng'ayogera omutwe agusulikka
Nga nebwemumwenyeza ye atunula bali
Kyoka omukwano gwe nali nguwulira
Mulinze era mwesunze
Njagala kudamu kumulaba
Mulinze era mwesunze
Yeyangambye ansange wano
Mulinze era mwesunze
Njagala kudamu kumulaba
Mulinze era mwesunze
Yeyangambye ansange wano
Muleteddeyo enkoma mawanga
Akome kunze aleme obuna mawanga
Namunabidde ne kayayana
ayayane nga okundaba
Muletedde nakayukyiyukyi
kuba yemugenyi atazunza njukyi
Ninze wemulabira mugambe bwenti
Nti I love you too baibey
Mulinze era mwesunze
Njagala kudamu kumulaba
Mulinze era mwesunze
Yeyangambye ansange wano
Mulinze era mwesunze
Njagala kudamu kumulaba
Mulinze era mwesunze
Yeyangambye ansange wano
(Amujadi Arts)
Nze nasuze kutebukye nga nesunze
Nga nindiredde okukulaba
Mazima obwedda ndi kubunkenke nga ntidde
Gwe wangambye onsange wano
Byona byewangamba ,answer nziresse
nga nindiredde okukulaba
Era kenkulabyeko nzena mpewedde
Gwe wangambye onsange wano