0:00
3:02
Now playing: Birowoozo

Birowoozo Lyrics by Iryn Namubiru


Wuuuu uuh
Aaah aah
Fusion Band
Mwami
Mwami mwami
Mwami eeh

Mbadde ndi awo neerariikirira
Nga mmanyi ebyange bisebengerera
Nendowooza, nti oba nina
Okukyusa ku by’okulya
Nendya buli kimu nga wa!
Kko nze bino nno byagala ddagala (yeah)
Omubiri gwange gwonna
Nga gukozze gunzigwako
Nennumba Mulago mu b’omusaayi
Gw’oba gwe olowooza ki?
Omusawo n’aŋŋamba nina ekiwundu
Ekiwundu ekiteetaagisa kutunga
N’aŋŋamba kiri ku mutima
Ate nga kiva ku bwongo
Kko ye bambi oyinza n’okufa
Ku kye ndabye naye nno

Ebyo birowoozo
Birowoozo by’ono eyagenda naatadda
Birowoozo
Bindi bubi era simanyi oba alidda (ah yeah)
Birowoozo
Birowoozo by’ono eyagenda naatadda
Birowoozo
Bindi bubi era simanyi oba alidda

Hmmm, omutima gunnuma nentuula
Nendowooza nti oba gwe mulwadde
Bwempita mu kkubo n’abamu basemberayo
Anti nninga omuzoole
Naye wagenda wa?
Oba wagenda wa mwami wange?
Eeh eh, eeh eh (mwami wange)
Okukomba ku ggulu
Sirikiddamu, kye nakkola
Kubanga binnuma binnuma
Binnuma binnuma bindi bubi eeh

Bino birowoozo
Birowoozo by’ono eyagenda naatadda
Birowoozo
Bindi bubi era simanyi oba alidda
Birowoozo
Birowoozo by’ono eyagenda naatadda
Ah birowoozo oh
Bindi bubi era simanyi oba alidda

Mwami
Mwami mwami
Mwami
Mwami mwami
Mwami mwami
Tonnumya obwongo
Mwami wange tonnumya obwongo
Mwami
Mwami mwami
Mwami
Mwami mwami

Kati saagala mmunyiize
Saagala mmukaabye
Saagala mmuswaze
Saagala mmunyiize
Bwoba ng’omusanze
Mugambe nagonze
Kubanga gunnuma (oh wo)
Omutima gunnuma (oh wo)
Omutwe gunnuma (oh wo)
Negyendya tewooma (oh wo)
Mugambe mmulinze (oh wo)
Ewange mmulinze (oh wo)

Bino birowoozo
Birowoozo by’ono eyagenda naatadda
Bindi bubi
Bindi bubi era simanyi oba alidda
Bino birowoozo
Birowoozo by’ono eyagenda naatadda
Bindi bubi
Bindi bubi era simanyi oba alidda

Birowoozo oh oh oh
Birowoozo by’ono eyagenda naatadda
Maama bindi bubi
Bindi bubi era simanyi oba alidda
Bino, birowoozo
Birowoozo by’ono eyagenda naatadda
Bindi bubi
Bindi bubi era simanyi oba alidda