Nzijukira lwenasooka okulaba
Munnange n’otulo kw’olwo twambula
Nalowooza bingi ng’obulo
Eyo essaawa ng’omukwano gungoyagoya
Nayiiya eky’okuwa kyambula
Laba bwenzijukira, akabidde kennawanika
Nakeererawo okusogola
Mukwano owulira
Emberege baby neewera
Ng’olwo gwe oli eyo
Nga nze ndi eno
Ng’omwoyo guli eyo
Ng’abantu bayonta
Basaba mbataase
Nze naye omutima gwalema
Yeggwe asookako
Yeggwe agisookako emberenge yange (emberenge, emberenge)
Naterekera gwe akabissi kange (emberenge, emberenge)
Yeggwe agisookako emberenge yange (emberenge, emberenge)
Teriiyo agikombako nga gwe tonnaginywako
Njagala kunyiga ku mutima obuwundu obwo
Njagala kunoga kubutuntunu bwendaba awo
Nakuterekera kali kennyini konko konko
Njagala nkakuwe mu kaseera akatuufu tuufu
Mpulira mpulira mpulira yeggwe gwendowooza
Mr. Composer
Wekera wekera wekera you’re my world around now
You’re my composure, eh
And you’re my babe
Yeggwe agisookako emberenge yange (emberenge, emberenge)
Naterekera gwe akabissi kange (emberenge, emberenge)
Yeggwe agisookako emberenge yange (emberenge, emberenge)
Teriiyo agikombako nga gwe tonnaginywako
Eddoboozi lyo mukwano bw’oyogera n’ensaali zengera eeh
Amaaso go nnyabo bw’ontunuulira wenakulira
Ye nkugamba byaki toobeere nze
Olabe kino kyendaba yeah
Ye kati onkaabya lwaki ng’ate oli awo?
Nga nange ndi wano
Amannyo go munnange bw’omwenya bwoti n’emmunyenye zibula!
Ye nkolejjera ki ng’ate oli wano?
Gwe kwata sumulula
Natereka nga mmanyi nti gwe
Yeggwe agisookako emberenge yange (emberenge, emberenge)
Naterekera gwe akabissi kange (emberenge, emberenge)
Yeggwe agisookako emberenge yange (emberenge, emberenge)
Teriiyo agikombako nga gwe tonnaginywako
A Kama Ivien Baddest