0:00
3:02
Now playing: Tukiggale

Tukiggale Lyrics by Carol Nantongo ft. Eddy Yawe


Ayiyiyiyiyiyiiiiiii

Both
Gira tukiggale
Kino tukiggale
Gira tukiggale ggwe
Mmmhhh
Ah gira tukiggale
Wantwala omwoyo
Kino tukiggale
Gira tukiggale ggwe

Carol
You have been far away
Ng’omutima guluma guluma
Nga buli lwe neesunga nkwateko
Nga biba birooto mwe mba
Aah Maama naloota mmh
Abange nga neesunga
Nga laba omusajja gwe neesunga
Wuuno mutuseeko
Naye alinze nze bambi
Mmmhhh

Eddie
Nantongo laba bw’otuuse
Ng’ate bambi nakuloose
Nga nkulaba otudde wano wendi maama
Mu mukwano omungi era
Bitya bambi gy’obadde
Babe jangu wano
Gye mbadde nga siyala ah
Leero nteredde

Both
Don’t you worry
Kasita nze wendi
Nange wendi
Nze wuwo

Eddie
Gira tukiggale
Kino tukiggale
Gira tukiggale ggwe

Carol
Ssenga
Ssenga yambuuzanga
Nti aliwa?
Omusajja gw’olinze y’ani?
Nga bwe neesunga
Ng’ate oluusi bwe ntya
Nakupenda sana
Nsaba obeere owange
Nakukunda kyane
Nakupenda sana

Eddie
Now I got you babe
I’m gonna take you down to ma home
Now I got you babe
I’m gonna take you down to ma home
Ntongo sembera
Ebirowoozo n’omutima biibino
Ntongo nze wuwo
Nkakasa nti tondeke mu mpewo

Both
Don’t you worry
Kasita nze wendi
Nange wendi
Nze wuwo

Carol
Waliwo abanyumya abageya abaloga
Abagamba nti twete
Nze nafuna mwana wa boobo
Simugatta na migunju
Tugende nga bwendi
Nze ewaka siddayo
Nze kasita oli nange
Buli kimu tusanga eyo
N’engoye tusanga eyo
Eby’okulya tunalya eyo oh

Eddie
Ye nga ndabye nnyabo
Eby’okola by’ebingi
Nze tomenya enkizi
Gwe tonzinisa amateera
Omugongo gwange gukaluba
Tonkola eby’ekitiini
Eh yeah
Gwe jangu jangu eno mwatu nkukwateko
Wotabadde mbadde nfa nze ebirowoozo
Bw’otuuse oti laba obulamu bwe bwejaga
Tera otuuke kuba nalinda dda

Both
Ayi
Eh babe
Nze bannange ondaajanya
Eno ntujjo ya mukwano
Nyumirwa nyumirwa nyumirwa nyumirwa
Nze mwana ggwe bannange tonta
Nkwata nkwata nkwata nyweza
Wooloolo wooloolo wooloolo
Bannange onsanuula
I know darling is only me
Ayi
I know
Ayi
Nze bannange ondaajanya
Eno ntujjo ya mukwano
Nyumirwa nyumirwa nyumirwa nyumirwa
Nze mwana ggwe bannange tonta
Nkwata nkwata nkwata nyweza
Wooloolo wooloolo wooloolo
Mwana ggwe onsanuula