0:00
3:02
Now playing: Omwoyo

Omwoyo Lyrics by Liam Voice


Hello!
Yogera mpulire
Voice Boy wo nnyize nkubire
Nga njagala eddoboozi lyo mpulire
Omutima gubugume

Kinfukamiza ne ku makya nsabire
Omutima gwo gw’olina gugume
Buli ekikuteganya okimale
Kuba mmanyi bikaawu gy’obeera
Baby mmanyi obalaba
Abansinga okunyirira bbo obalaba
Bakulaze amakula
Nga bakulaga bye ssirina
Nsuubiza bwe ndiba nzikoze
Nze njagala amaziga go ngakaze
Olwo ebirooto byo ndibanga

Mmanyi nti omwoyo
Gulisigala gukulwanira
Ne bwe ndiba ensi ngisiibula
Gulisigala gukulwanira
Mmanyi nti omwoyo
Gulisigala gukulwanira
Ne bwe ndiba ensi ngisiibula
Gulisigala gukulwanira

Yeah yeah yeah
Ntya mukwano gwe nina kusaasaana
Nfuba nkusanyuse obe ng’ojaagaana
Y’ensonga lwaki njaayaana
Mmanyi ensobi nina ssigwanidde
Omukwano gwo mungi gw’ompadde
Kye neebuuza nze ani gw’olonze?
Nze ani?

Mmanyi nti omwoyo
Gulisigala gukulwanira
Ne bwe ndiba ensi ngisiibula
Gulisigala gukulwanira
Mmanyi nti omwoyo
Gulisigala gukulwanira
Ne bwe ndiba ensi ngisiibula
Gulisigala gukulwanira

Kinfukamiza ne ku makya nsabire
Omutima gwo gw’olina gugume
Buli ekikuteganya okimale
Mmanyi ensobi nina ssigwanidde
Omukwano gwo mungi gw’ompadde
Kye neebuuza nze ani gw’olonze?
Nze ani?

Mmanyi nti omwoyo
Gulisigala gukulwanira
Ne bwe ndiba ensi ngisiibula
Gulisigala gukulwanira
Mmanyi nti omwoyo
Gulisigala gukulwanira
Ne bwe ndiba ensi ngisiibula
Gulisigala gukulwanira