0:00
3:02
Now playing: Nkulinze

Nkulinze Lyrics by Juliana Kanyomozi


Ah ah ah ah, oh oh (oh oh)
Oh oh (oh oh)
Ah ah ah ah, oh oh (oh oh)
Oh oh (oh oh)

Kati ondaga nti onkyaye naye munnange
Onkyayira ki?
Onsudde naye munnange
Nkukoze ki?
Sirina musango (ooh)
Sirina mutawaana (aah)
Abo bakulimba
Bagala ondeke batwale abo babbi
Nsaba ojjukire gye tuvudde
Bye tuyiseemu
Ebigambo obugambo nti twawukanye
Ebyo by’ompaana
Nz’ani alibimpaana?
By’obadde onjagala
Nz’ani alinjagala nga gwe era abituukirize?

Nze nkulinze ssikyebaka (aah)
Okutuusa bw’olidda (bw’olidda)
Okimanye nti mukwano wootoba (wootoba)
Buli kimu kirinda gwe (kirinda gwe eeh)
Nze nkulinze ssirya mmere (ooooh)
Okutuusa bw’olidda
Okimanye nti mukwano wootoba (wootoba)
Buli kimu tekitambula

Wadde bankwana bangi
Sijja ggwa mu nsobi
Bantawanya bangi
Nze naye ŋŋaanye
Nja kulinda gwe
Mpaka ng’onziriddemu
Vva ku bigambo
Vva ku boogezi batabula
Balina ensaalwa
Baagala ondekewo baseke munnange
Ntya obw’omu munnange
Ntya okubeera nzekka
Ntya okukyayibwa nze
Ntya okubeera nzekka
N’akayimba kaakano

Nze nkulinze ssikyebaka (nkulinze eh)
Okutuusa bw’olidda (ooooh)
Okimanye nti mukwano wootoba
Buli kimu kirinda gwe (kirinda gwe eeeh)
Nze nkulinze ssirya mmere
Okutuusa bw’olidda (bw’olidda aah)
Okimanye nti mukwano wootoba
Buli kimu tekitambula

Ah ah ah ah, oh oh (oh oh)
Oh oh (oh oh)
Ah ah ah ah, oh oh (oh oh)
Oh oh (oh oh)
Ah ah ah ah, oh oh (oh oh)
Oh oh (oh oh)
Ah ah ah ah, oh oh (oh oh)
Oh oh (oh oh)

Nze nkulinze ssikyebaka (sikyebaka)
Okutuusa bw’olidda (ooooh)
Okimanye nti mukwano wootoba (ooooh)
Buli kimu kirinda gwe
Nze nkulinze ssirya mmere (ssirya mmere)
Okutuusa bw’olidda
Okimanye nti mukwano wootoba (wootoba)
Buli kimu tekitambula

Nze nkulinze, ssikyebaka (nkulinze bw’olidda)
Ah, ssirya mmere (na na na na)
Nkulinze, ssikyebaka (nkulinze bw’olidda)
Ah, ssirya mmere (nze kaŋŋume ninde)
Nze nkulinze, ssikyebaka (sijja kukoowa)
Ah, ssirya mmere (emisana n’ekiro)
Nkulinze, ssikyebaka (kuba ndi wuwo)
Ah, ssirya mmere

Nze nkulinze ssikyebaka (eeh)
Okutuusa bw’olidda (eeeh)
Okimanye nti mukwano wootoba (aaah)
Buli kimu kirinda gwe (yeah)
Nze nkulinze ssirya mmere (aaah)
Okutuusa bw’olidda (na na na na)
Okimanye nti mukwano wootoba
Buli kimu tekitambula