0:00
3:02
Now playing: Siri Muyembe

Siri Muyembe Lyrics by Rema Namakula


Olese ndiizi mu lusuku abuulukukire eyo
Naye manya ebinyonyi bigenda kumubojjogola

Naawe lwaki weekunya? [Lwaki weekunya]
Oneekwasa ani bwononsubwa?
So nga jempita, ndeka abasajja batega ngalo
Mbeggyako nga bangoberera mbakambuwalira bansekerera
Mu makubo emisana n'ekiro nga bampaana

Sirina gwennali nsabye nnamba
Naye babula kuzimpandiikako
Sibuuza na jebasula naye ate bandagirira

Nze ndaba obongoota zuukuka
Bwoba onjagala kindage
Ojira osumagira balikuyita
Kulitalaba

Siri muyembe
Nti oba onninda kwengera olimba
Siri paapaali
Nti owanula mengevu mboona
Nze binemye ebibyo
Nkulinze nkooye
Tonkabiranga
Nga bakukubye bbusu

Nze laavu yantabula eri esesa
Gwo yagala aba agayaala
Nga gwotamatira ye akukaabira
Bwoyoya ekibumba awo waali
Tekimugaana kukuttira nte
Nebweweekaza n'omuvuma bambi ate yeyeenenya

Ekintu kyolina okyakigaya
Oluliva awo nga wejjusa
Ng'owoza saamanya nali nnina okwanguwa
Nze ndaba ovumbeera tumbuka
Oleme kwekuba ate gakonde
Nti gunsinze gunsingidde ddala

Siri muyembe
Nti oba onninda kwengera olimba
Siri paapaali
Nti owanula mengevu mboona
Nze binemye ebibyo
Nkulinze nkooye
Tonkabiranga
Nga bakukubye bbusu

Mbiwulira nga bakulumiriza
Simanya bino manya biri
Babijweteka nti era, ndimu kasala luguudo
Nze ebyo tebindya manyi wolokoso
Teri magic ansika
Guli mukwano gwegwantuuka ewala
Tondeka mu mwala gwa bikemo
Mujjuvu, gujja kunserengesa
Olyoke onnenye nze onsalire omusango
So nga bambi ggwe musobya
Okugalabanja nze nzenna
Gwe seka Oli byejjusa nga nfunye afaayo

Siri muyembe
Nti oba onninda kwengera olimba
Siri paapaali
Nti owanula mengevu mboona
Nze binemye ebibyo
Nkulinze nkooye
Tonkabiranga
Nga bakukubye bbusu

Siri muyembe
Nti oba onninda kwengera olimba
Siri paapaali
Nti owanula mengevu mboona
Nze binemye ebibyo
Nkulinze nkooye
Tonkabiranga
Nga bakukubye bbusu