0:00
3:02
Now playing: Tonsibula

Tonsibula Lyrics by Vivian Mimi


Pawaz Entertainment
Grey Town

Nakedde ku makya
Nempawamuka muli nga neesisiwala
Nenfumiitirizaamu obulamu wootali nga buzibuwala
Nga n'ebizikiza eno ebyali biremye wakubamu amataala
Nemmanya obulamu mwotoobe
Omulungi ndisiriwala
Sirina kyesiikole
Oba kutambula obukunya ondabe
Oba ebikutiya mbyambale
Kasita onsuubiza nti onaakuuma ebisuubizo
Love kyetankole
Empewula kisosonkole
Ennunda nga Munyankole
Bw'alunda ente love love

My baby bw'oliba ng'olandanga (tonsiibula)
Kkiriza mbeere mpagi ekuwaniriranga (tonsiibula)
Nebwoliba okooye
Baby bw'oliba ng'olandanga (tonsiibula)
Kkiriza mbeere mpagi ekuwaniriranga (tonsiibulanga)

Bw'olindeka nditambula ndoota
Nga nafuuka kisekererwa buli omu asanga
Nga gwe eyampanika mu bbanga
Waninnyako ebisooto ninga nga rug
Buliseka obuvubuka
Olw'okuba ndiba nsiba bikutuka
Nkusaba tebukya negusassika
Mukwano gwaffe ku ttaka negwatika babe
Ng'olugendo lukutemye enteega
Nti era ndikuweeka
Wadde ndi munafu ndikuweeka
Kuba niwe wenka

My baby bw'oliba ng'olandanga (tonsiibula)
Kkiriza mbeere mpagi ekuwaniriranga (tonsiibula)
Nebwoliba okooye
Baby bw'oliba ng'olandanga (tonsiibula)
Kkiriza mbeere mpagi ekuwaniriranga (tonsiibulanga)

Nze lwe nkulaba nenkulojja
Ng'akawewo bw'otyo bw'ojja
Mpolampola ng'omusujja
Omutima n'ogubojja
Baakutonda ku nkya
Baakutonda ku nkya ng'obudde bukkakkamu

Tonsiibula
Tonsiibula

Nebwoliba okooye
Baby bw'oliba ng'olandanga (tonsiibula)
Kkiriza mbeere mpagi ekuwaniriranga (tonsiibulanga)

Grey Town
Tonsiibula
Tonsiibula aah