0:00
3:02
Now playing: Mirembe

Mirembe Lyrics by Vivian Mimi


Pawaz Entertainment
Nsaba mirembe
Awerekerwenga mirembe

Ayi Katonda
Nfukamidde mu maaso go 
Nga nsaba yo ka second
Ekindesse 
Nsonga za mutima gwange
N'ogwoli gwe wampa tube ffembi
Eyo gyali, bingi ebimusobako
Kyenva nsaba mube mwembi
Mu maaso amabi, emyooyo emibi
N'akalimu kalina okamukumire

Wansi wenjuba
Kizibu kya kwawula omulungi n'omubi
Buli omu amwenya
Nga atte bwendaba
Obwa busy bwabaako n'obudde obufukamila
Olussi okusaba nabwo bubula

Nsaba mirembe
Awerekerwenga mirembe
Nsaba mirembe
Awerekerwenga mirembe

Mu mikono gyo
Taata mwentadde omwami wange
Mu mikono gyo
Taata mwentadde omwami wange
Omuwewuleko ebimuzitowerera
(Sasira entuuyo ze affune)
Na buli mukisa gw'omuwerekera
(Dabiriza ensawo ye affune)

Musabidde mukuwadde
Kululwe nfukamidde
Nga n'emikono ngigolodde mukuwadde
Kululwe nfukamidde

Wansi wenjuba
Kizibu kya kwawula omulungi n'omubi
Buli omu amwenya
Nga atte bwendaba
Obwa busy bwabaako n'obudde obufukamila
Olussi okusaba nabwo bubula

Nsaba mirembe
Awerekerwenga mirembe
Nsaba mirembe
Awerekerwenga mirembe

Ayi Katonda (Nsaba mirembe)
Nfukamidde mu maaso go (Awerekerwenga mirembe)
Nga nsaba yo ka second
Ekindesse (Nsaba mirembe)
Nsonga za mutima gwange (Awerekerwenga mirembe)
N'ogwoli gwe wampa tube ffembi
Eyo gyali, bingi ebimusobako

Mu maaso amabi, emyooyo emibi
N'akalimu kalina okamukumire

Wansi wenjuba (Nsaba mirembe)
Kizibu kya kwawula omulungi n'omubi (Awerekerwenga mirembe)
Buli omu amwenya
Nga atte bwendaba (Nsaba mirembe)
Obwa busy bwabaako n'obudde obufukamila (Awerekerwenga mirembe)
Olussi okusaba nabwo bubula