Pawaz Entertainment
Gwagaana
Gwagaana
Muntu wange bwoba olumwa
Nange eno mba numwa
Byoyitamu eyo binkosa
Gwe bwokaaba nze eno ganjula
Mukwano gwo gwe gummala amanyi
Ate ela gunzizaamu amanyi
Buli lwe ntunula ku kifananyi
Ne bwemba nafuwa nziramu amanyi
Buli lwo bulawo mbeera mugonvu
N'obulamu buba bumpi si buwanvu
Yegwe antukuza okukira ku kyoovu
Gwe ba omu husband mbe omu wife
Manya ndi tambula naawe nga sitidde
Oli mu mutima munda mw'otudde
Kuba nkimanyi bangi baby b'osudde
Bali mu maziga bateredde ntende
Omanyi omutima gwagaana
Gwagooba abalala gwagaana
Omutima gwagaana
Gwagooba abalala gwagaana
Ndi kwesibako paka kulunaku lw'embaga
Obasinze omukwano obasinze ne swagga
Tuliba butoola nga luggi ne ppata
Bali tubate abo tebatufatta
Ebitaala byantadde
Yegwe katonda gw'ampadde
Nkusaba ne lw'olwadde
Mbe omusawo wo bwoba nga okyagadde
Kuba nkumanyi
Ddala baby nkumanyi
Ebikunyiga n'ebisanyusa mbimanyi
Kuba nkumanyi
Ddala baby nkumanyi
Ebikunyiga n'ebisanyusa mbimanyi
Manya ndi tambula naawe nga sitidde
Oli mu mutima munda mw'otudde
Kuba nkimanyi bangi baby b'osudde
Bali mu maziga bateredde ntende
Omanyi omutima gwagaana
Gwagooba abalala gwagaana
Omutima gwagaana
Gwagooba abalala gwagaana