0:00
3:02
Now playing: Onkaabya

Onkaabya Lyrics by Vivian Mimi


Onkaabya lwakuba okimanyi
Ndi munafu mutima
Kyova ogujjuza amabala
Kuba okimanyi
Bw’ononnyiiza naasonyiwa
Onnyiiza lwakuba okimanyi
Yeggwe gwe nina
Sssisobola bya kukukyawa
Kuba okimanyi
Bw’ononnyiiza nja sonyiwa

Kati ngezezzaako kye nsobola
Okumatiza omutima gwo nfubye tegunsosola
Ne bwe nkuyita tompitaba
Kyandiba ng’ebinkaabya bikkolera
Kansuubire mukwano olinsonyiwa
Bwe ndiba nfunye omulungi alimponya ogayiwa
Mazima nfubye ntobye okkuyiga
Nga naye omutima gwe oguyuza nga tiger
Nfunye nkumu ebiwundu munda nze
Olukindo lw’omukwano luvunze
Binnemye omukwano gunnyinze
Kati kankole ebyange

Onkaabya lwakuba okimanyi
Ndi munafu mutima
Kyova ogujjuza amabala
Kuba okimanyi
Bw’ononnyiiza naasonyiwa
Onnyiiza lwakuba okimanyi
Yeggwe gwe nina
Sssisobola bya kukukyawa
Kuba okimanyi
Bw’ononnyiiza nja sonyiwa

Olw’olumu onsanyusa olw’olumu onnyiiza
Ne bw’olaba nkaaba otuula n’okkalira!
Nga tomanyi buzito love yo eyo bw’entisse
Buligi bw’amafumu g’onfumise
Tukite nkute nkumale
Ŋŋende nfune omulungi alimponya mbimale
Leero kankunaabe amazzi ngayiwe
N’omukwano gwo ngusuulewo ngulinnyirire
Nfunye nkumu ebiwundu munda nze
Olukindo lw’omukwano luvunze
Binnemye omukwano gunnyinze
Kati kankole ebyange

Onkaabya lwakuba okimanyi
Ndi munafu mutima
Kyova ogujjuza amabala
Kuba okimanyi
Bw’ononnyiiza naasonyiwa
Onnyiiza lwakuba okimanyi
Yeggwe gwe nina
Sssisobola bya kukukyawa
Kuba okimanyi
Bw’ononnyiiza nja sonyiwa

Kansuubire mukwano olinsonyiwa
Bwe ndiba nfunye omulungi alimponya ogayiwa
Mazima nfubye ntobye okkuyiga
Nga naye omutima gwe oguyuza nga tiger

Onkaabya lwakuba okimanyi
Ndi munafu mutima
Kyova ogujjuza amabala
Kuba okimanyi
Bw’ononnyiiza naasonyiwa
Onnyiiza lwakuba okimanyi
Yeggwe gwe nina
Sssisobola bya kukukyawa
Kuba okimanyi
Bw’ononnyiiza nja sonyiwa