0:00
3:02
Now playing: Nsula Naye

Nsula Naye Lyrics by Chosen Becky, Lyto Boss


Love is a feeling you can’t stop
Hmmm, it is just a call away
Chosen Becky sing for them

Becky
Nze nga njagala, nfiira kw’omu
Sitagala na balala
Mutima gwange ssi muyabayaba
Siri nga bano abalala
Nga Katonda bwe yatonda ebitonde
Yatonda omwezi gumu
Bwatyo era nange
Manyi yakuntondera omu
Bambi manya
Abasekeeterezi balyake babi
Towuliriza, be my witness
N’obeeranga, omwana omuto
Bw’akaabira ebbeere
Manya wendi, mukwano
To fulfill your desires

Both
Gwe nalootanga kati nsula naye
Nsula naye
Bannange omwana nsula naye
Nsula naye
Gwe nalootanga kati nsula naye
Nsula naye
Omulungi ono nsula naye
Nsula naye

Ejjinja ery’omuwendo erinoonyezebwa yeggwe
Oyo akufuna aba yesiimye
Nze okukufuna
Nali namukisa okukufuna
Tebyali byangu
Olugendo lw’omukwano ssi lwangu
Hmm, bangi bakaaba
Abalala ebiwundu bakyanyiga
Abamu baabakwabula
Abalala emitima wagimenya
Naye nze ebyo wabimponya
Oh baby, kati mpulira biwulire

Both
Wali obaddeko awo
Ng’olina ky’oyayaanira?
N’okifuna mu bujjuvu?
Nafuna omwana ono, ooh
Nange olina engeri gy’onkwata
N’onsumulula nzenna
Obwongo n’omusaayi wabyefuga
Walaayi sirina kye njula
Mukwano oli ddagala
Livumula buli ndwadde mu mutima
Killer pain ommala, oooh
Sirijulirira balala

Eh eh eh eh
Eh eh eh eh
Eh eh eh eh
Yeah eeh
Yeah eeh
Ooh oh
Ooh oh
Eeeh eh
Nsula naye
Omwana nsula naye
Oooh oh