0:00
3:02
Now playing: Aliba Ani

Aliba Ani Lyrics by Chosen Becky


Let them see it
Mukwano gwange Kano kekayimba Kenakusuubiza nkuyimbire
Okuva kuntobo yomutima gwange kawulire
Nali ndowoza nti abantu abalunji Bebalina sente ezifukumuka
Abo abanyirira nga bamalayika Naye nalabuka
Emibiri gyabwe ne Emitima gyabwe bibera ne enjawulo etenkanika
Nga nolumu ebigambo nendowoza zaabwe si byebimu ate yii
Gwe Naye nakufuna nga kirabo mumutima wandya nga kiwukaa
Akadagala kabayagalana kuba kubeera boombi

Naye nga lwaki? oyo aliba ani?
Omuntu alinzijja wano wendi
Banange aliba ani?

Mazima ddala ki?, oyo aliba ani?
Omuntu alinjagazisa owundi
Naye ddala aliba ani?

Nkubamu akafananyi nga olwo wagenda
Nondeka nga silina luyingo
Ebintu bayaffe byona byetuyiseemu nga olwo obikooye
Abolugambo bantu bakacwaano
Emitawana mubayagalana
Enyombo nenjawukana bebabileeta beewale abo
Ebyama byaffe olwo oyiweyiwe eyo
Nga buli gwosanga tomutaliza
Abakulu nabato bonna obabulira nga bwewakoowa yii
Olwo Omutima gwanga nga ogumenye amaziga genkaaba gakulukuta
Gava mu love etalina kijjuzawo Ngoolwo ogenze yi Nedda
Naye Nali nakufuna nga kitone, Mumutima wayingira nga kinusu
Akadagala kabayagalana kuba kubeera fembi

Naye nga lwaki, oyo aliba ani?
Omuntu alinzijja wano wendi
Banange aliba ani?

Mazima ddala ki?, oyo aliba ani?
Omuntu alinjagazisa owundi
Naye ddala aliba ani?

Yii munnange sembera eno banange
Bino byenkuwa si bikuta bya gonja nti oba oliawo binakala nkya
Ntebereza bitebereze olwo nenfuba
Negendereze
Omanyi mukwano eno yensi yokka abalal batulimba

Naye nga lwaki, oyo aliba ani?
Omuntu alinzijja wano wendi
Banange aliba ani?

Mazima ddala ki?, oyo aliba ani?
Omuntu alinjagazisa owundi
Naye ddala aliba ani?