Namagembe oliwa?
Ng’oluddeyo nnyo eyo gy’oli!
Laba ndi wano nkulinze
Nindiridde owange
Nze gwe nasiima mu bangi
Ate anti bulijjo
Weetegerezanga nnyo abantu
Bwe mutabagana obulungi
Ababawalana lwe baba abangi
Ne babalemesa omukwano
Jjukira luli
Lwe twali ffembi
Ng’abatulaba, balaba bubi
Olw’okuba nti ffe tussa kimu
Ne tubalemesa aah ah
Weyongere wano
Tobaliraana bali
Tobaliraana ab’okukulumya
Abo abakolerera okukulumya
Baveeko baviire eeh eh
Ooh oh, aah ah
Nkwagala (Nkwagala)
Mpisibwa bubi bwe buziba (Mpisibwa bubi)
Ne bukya nga sikulabyeko
Nkwagala (Nkwagala)
Kimalamu amaanyi (Mpisibwa bubi)
Bwe mba sikulabyeko, oh oh
Mukwano Namagembe
Nkwagala
Nkwagala nnyo tondekangawo (Mpisibwa bubi)
Nga sikulabyeko
Bwe mba ne bye nkola, tebigenda
Nsula bubi nnyo nze (Nkwagala)
N’otulo ne tubula (Mpisibwa bubi)
Bwe mba sikulabyeko
Ate anti bulijjo
Weetegerezanga nnyo abantu
Bwe mutabagana obulungi
Ababawalana lwe baba abangi
Ne babalemesa omukwano
Jjukira luli
Lwe twali ffembi
Ng’abatulaba, balaba bubi
Olw’okuba nti ffe tussa kimu
Ne tubalemesa aah ah
Weyongere wano
Tobaliraana bali
Tobaliraana ab’okukulumya
Abo abakolerera okukulumya
Baveeko baviire eeh eh
Nkwagala (Nkwagala)
Mpisibwa bubi bwe buziba (Mpisibwa bubi)
Ne bukya nga sikulabyeko
Nkwagala (Nkwagala)
Kimalamu amaanyi (Mpisibwa bubi)
Bwe mba sikulabyeko, oh oh
Mukwano Namagembe
Nkwagala
Nkwagala nnyo tondekangawo (Mpisibwa bubi)
Nga sikulabyeko
Bwe mba ne bye nkola, tebigenda
Nsula bubi nnyo nze (Nkwagala)
N’otulo ne tubula (Mpisibwa bubi)
Bwe mba sikulabyeko
Tondekangawo (Nkwagala)
Mpulira bubi (Mpisibwa bubi)
Nga sikulabyeko, oh oh
Mukwano Namagembe
Tondekangawo (Nkwagala)
Mpulira bubi (Mpisibwa bubi)
Bwemba sikulabyeko, oh oh
Mukwano Namagembe (Nkwagala)
Nkwagala nyo tondekangawo (Mpisibwa bubi)
Bwe mba sikulabyeko, oh oh
Nsula bubi (Nkwagala)
N’otulo ne tubula (Mpisibwa bubi)
Bwe mba sikulabyeko
Nsula bubi