0:00
3:02
Now playing: Maama

Maama Lyrics by Vivian Tendo


Omukwano gwa maama
Gukirako olugoye olw’ebbeeyi
Olwambalamu ne lukaddiwa
Omukwano gwa maama
Mulungi tegukaddiwa
Amaaso ga maama
Gasingako amataala ga Benz
Olulikoonako nga lyatika
Omukwano gwo maama
Gw’aguma tegwatika
Wamma maama seka
Buli lw’ontunulako oti seka
Mummy ebigambo byo ezo lesson
Ndi muyizi wo
Ewaka ly’essomero lyange
ŊŊenda wa maama
ŊŊenda wa maama
Mutwalire ebyange
ŊŊenda wa maama
ŊŊenda wa maama
Mulage ebyange
ŊŊenda wa maama
ŊŊenda wa maama
Mutwalire ebyange
ŊŊenda wa maama
ŊŊenda wa maama
Mulage ebyange

Mummy oli ky’amagero
Eddwaliro ly’omutima ogumenyese
Mummy oli muntu wa bbeeyi
Osaana kulamula bukadde
Olwaleero kye nkusaba
Otwalangayo akadde n’onsabirako
Kubanga essaala z’omulungi
Zikoma ku mutima gwa Katonda
Mummy wansenerako
Ku mikisa gyo wansenerako
Mukwano wansenerako
Ku bulungi bwo wansenerako

ŊŊenda wa maama
ŊŊenda wa maama
Mutwalire ebyange
ŊŊenda wa maama
ŊŊenda wa maama
Mulage ebyange

Kale kaŊŊende
KaŊŊende
Oh maama
Maama
ŊŊenda wa maama
ŊŊenda wa maama
Eeeh eeh eeh
ŊŊenda wa maama

Omulungi n’onzijukiza
Ebirungi ebiri mu kusoma
Omukwano n’onzijanjaba
Bwe nalwalanga, n’obudaabuda
Dear oli musumba mulungi
Wanjigiriza okusaba
N’okwesiga Katonda ne nkimanya
Nti ebintu by’ensi eno byo tebigasa
Wamma maama seka
Buli lw’ontunulako oti seka
Mummy ebigambo byo ezo lesson
Ndi muyizi wo
Ewaka ly’essomero lyange

ŊŊenda wa maama
ŊŊenda wa maama
Mutwalire ebyange
ŊŊenda wa maama
ŊŊenda wa maama
Mulage ebyange
ŊŊenda wa maama
ŊŊenda wa maama
Mutwalire ebyange
ŊŊenda wa maama
ŊŊenda wa maama
Mulage ebyange

Yesse Oman Rafiki yeah
Yeah yeah
Route Music yeah yeah yeah
ŊŊenda wa maama
ŊŊenda wa maama